Song of Solomon 5

Owoomukwano

1 aNzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange;
nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange.
Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange,
Nywedde wayini wange n’amata gange.
Abemikwano

Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.
Omwagalwa

2 bNnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira.
Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti,
“Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange,
owe wange ataliiko bbala,
kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,
n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”
3Nziggyeko ekkooti yange,
nnaagyambala ntya nate?
Nanaabye ebigere,
nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?
4Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo,
omutima gwange ne gubuukabuuka.
5 cNe ngolokoka okuggulirawo muganzi wange,
emikono gyange nga gitonnya mooli,
n’engalo zange nga zikulukuta mooli,
ku minyolo gy’ekufulu.
6 dNe ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange,
naye muganzi wange ng’avuddewo,
yeetambulidde.
Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye.
Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.
7 eAbakuumi baansanga
bwe baali nga balawuna mu kibuga;
baankuba, ne bandeetako ebinuubule,
ne batwala n’ekyambalo kyange,
abasajja abo abakuuma bbugwe.
8 fMmwe abawala ba Yerusaalemi,
mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,
mumutegeeze ng’okwagala kwange
gy’ali bwe kunzita.
Abemikwano

9 gOwange, kiki muganzi wo ky’alina
kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi?
Kiki muganzi wo kyasinza abalala
n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?
Omwagalwa

10 hMuganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu,
atabula ne mu bantu omutwalo.
11Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo;
n’enviiri ze zirimu amayengo,
era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
12 iAmaaso ge gali ng’amayiba
ku mabbali g’emigga egy’amazzi,
agaanaazibwa n’amata,
ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.
13 jAmatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo,
obuleeta akaloosa akalungi.
Emimwa gye giri ng’amalanga
agakulukuta mooli.
14 kEmikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu
egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo.
Omubiri gwe guli ng’amasanga
amayooyote agatoneddwa ne safiro.
15 lAmagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira
ezisimbibwa mu zaabu ennungi.
Mu ndabika afaanana Lebanooni
omulungi ng’emivule gyayo.
16 mEnjogera ye mpomerevu,
weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.
Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;
mmwe abawala ba Yerusaalemi.
Copyright information for LugEEEE